AWEDDE! Owa bodaboda asibiddwa emyaka 30 lwa kusobya ku musabaze we

AWEDDE! Owa bodaboda asibiddwa emyaka 30 lwa kusobya ku musabaze we

Christopher Damulira ng’avuga bodaboda ku kyalo Kanoni mu disitulikiti y’e Gomba asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 30 lwa kusobya ku musabaze we.

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mpigi Dr. Winifred Nabisinde asingisizza Damulira omusango gw’okudda ku musabaze myaka 17 namusobyako ate nga mwana muto.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 29, Ogwokusatu, 2018, Omuwala yapangisa Damulira okumutwala awaka okuva mu tawuni y’e Kanoni kyokka webatuuka wakati mu kkubo mu kibira, yefuula nti pikipiki eweddemu amafuta.

Damulira, yasendasenda omwana okwegatta nagaana era amangu ddala yamukwata namuyingiza mu kibira, namwambula akapale k’omunda namusobyako.

Mu kkooti, Damulira yegaanye emisango mu kusooka kyokka oluvanyuma omwana bw’amulumirizza, yekyusizza nakirizza omusango.

Omulamuzi bw’abadde awa ensale ye agambye nti abantu nga Damulira batiisa abawala n’abakyala okulinya bodaboda n’okusiiga omulimu gwa bodaboda enziro.

Omulamuzi Nabisinde asalidde Damulira okusibwa emyaka 30 kyokka amusaliddeko ebbanga lya mwaka gumu n’emyezi 10 gy’abadde ku Limanda.

The post AWEDDE! Owa bodaboda asibiddwa emyaka 30 lwa kusobya ku musabaze we appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "AWEDDE! Owa bodaboda asibiddwa emyaka 30 lwa kusobya ku musabaze we"

Post a Comment