Bibiino ebintu 4 ebifudde omuyimbi Lydia Jazmine omuntu omutuufu okudda mu bigere bya Rema nga mukyala wa Kenzo, omwana ebikudde ebyama

Bibiino ebintu 4 ebifudde omuyimbi Lydia Jazmine omuntu omutuufu okudda mu bigere bya Rema nga mukyala wa Kenzo, omwana ebikudde ebyama

Omu ku bawagizi b’omuyimbi Eddy Kenzo, ategerekeseeko erya John alaze ebintu 4 lwaki Lydia Jazmine ye mukyala omutuufu agwanidde okudda mu bigere bya Rema Namakula.

John ali mu myaka 30 agamba nti abadde muwagizi wa Kenzo emyaka egisukka mu 8 kyokka Rema okumusuulawo, kiraga nti teyali nnamba ye mu bulamu.

John bw’abadde awayamu naffe agambye nti Kenzo yetaaga omukyala nga sereebu kuba naye sereebu era omukyala yekka alina okudda mu bigere bya Rema, ye Lydia Jazmine.

Agamba nti Jazmine alina ebisanyizo byonna okudda mu bigere bya Rema

1 – Mukyala Mulungi.

John agamba nti wadde Rema mukyala mulungi nnyo, ne Jazmine muwala alabika bulungi kuba yeetekamu ssente okwekuumira ku mutindo.

2 – Mukyala Muyimbi ate Sereebu.

Mu Uganda, Rema y’omu ku bakyala abasinga obuganzi mu kisaawe ky’okuyimba ate Sereebu kyokka ne Jazmine ku myaka 29 naye muwala ayimba bulungi nnyo ate naye Sereebu mu Uganda.

3 – Yeewa Ekitiibwa.

John agamba nti Rema y’omu ku bakyala mu kisaawe ky’okuyimba abasinga okwewa ekitiibwa kyokka ne Jazmine naye bwatyo kuba naye asobodde okulaga nti yeewa ekitiibwa mu ngeri ez’enjawulo omuli ennyambala n’enjogera.

4 – Muntu w’abantu.

Mu kiseera kino nga Kenzo anoonya omukyala, John agamba nti Jazmine naye muntu w’abantu nga Rema era y’emu ku nsonga lwaki mu Uganda y’omu ku bayimbi abalina obuganzi mu bantu.

John agamba nti singa Kenzo aleeta Jazmine mu bulamu bwe, tewali kubusabuusa kwonna, aba afunye omukyala omutuufu.

Okuva 2018, ebigambo bingi ebibadde biyitingana nti Kenzo ali mu laavu ne Jazmine era mbu y’emu ku nsonga eyasinga okutabula Rema.

The post Bibiino ebintu 4 ebifudde omuyimbi Lydia Jazmine omuntu omutuufu okudda mu bigere bya Rema nga mukyala wa Kenzo, omwana ebikudde ebyama appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Bibiino ebintu 4 ebifudde omuyimbi Lydia Jazmine omuntu omutuufu okudda mu bigere bya Rema nga mukyala wa Kenzo, omwana ebikudde ebyama"

Post a Comment