Owa People Power akubiddwa amasasi mu bukambwe, Poliisi etandiise okunoonyereza, omugenzi alese embooko y’omukyala

Owa People Power akubiddwa amasasi mu bukambwe, Poliisi etandiise okunoonyereza, omugenzi alese embooko y’omukyala

Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ku musajja eyattiddwa ku Masitowa e Nansana, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande, Poliisi nga yegatiddwako aba LDU bwe yabadde mu ddukaduka ne bannakisinde kya People Power.

Bannakisinde kya People Power baabadde bava mu disitulikiti y’e Kiboga okuziika omuntu waabwe Ritah Nabukenya eyafudde mu ngeri ekyatankanibwa ng’abamu balumiriza Poliisi, okumutomera n’afa e Nakawa ku luguudo lwe Naguru  ate Poliisi egamba nti yafunye akabenje, ekyavuddeko okufa kwe.

Wabula webatuuse ne Nansana ku Masitowa, Poliisi ne LDU yabadde erindiridde abawagizi ba People Power okubayimiriza obuteyongerayo mu Kampala era wakati mu kukuba amasasi okubagumbulula, waliwo omusajja eyakubiddwa amasasi agaamuttiddewo.

Kitegeerekese nti eyattiddwa ye Daniel Kyeyune era kiteeberezebwa yakubwa owa LDU.

Wabula Poliisi egamba nti omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika lye ddwaaliro e Mulago ssaako n’omusirkale waabwe eyatomeddwa emmotoka etamanyiddwa.

Poliisi egamba nti okunoonyereza ku ngeri Kyeyune gye yattiddwamu kutandikiddewo n’okuzuula engeri omusirikale waabwe gye yatomeddwamu.

The post Owa People Power akubiddwa amasasi mu bukambwe, Poliisi etandiise okunoonyereza, omugenzi alese embooko y’omukyala appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Owa People Power akubiddwa amasasi mu bukambwe, Poliisi etandiise okunoonyereza, omugenzi alese embooko y’omukyala"

Post a Comment