MUSWADDE! Faridah owa NTV awadde Bruno K erinnya okumwawula ku balala, ayogedde amazima ‘mpulira n’ebyenda biseeseetuse’
Munnamawulire wa NTV Faridah Nakazibwe avuddeyo ku bigambibwa nti ali mu laavu n’omuyimbi Bruno K.
Wabaddewo ebigambo ebyogerwa n’okuyitingana nti Faridah ne Bruno K bali mu laavu era y’emu ku nsonga lwaki Bruno K yakubye oluyimba lw’omukwano ‘Faridah’.
Mu luyimba lwa Bruno K agamba nti, ” Faridah, Faridah Faridah Faridah Faridah Faridah. Ndabye banji ntoko Ntambude amawanga munsi Naye oli malaika yeah yi yeah yeah Nabibade bimbuza otulo From the time I met byakoma Byona wabimponya Wabula baby wanyamba Nokiliza nofumba Wamponya teddy bear Ezo kutula muntebe Nze byali byanketa Nga ebya love tonyumiza But when I met you baby You turned my life so amazing“.
Mu luyimba era agamba nti, “Faridah my love omukwano gwo ntelese munji nyo Faridah my love am your one true love“.
Bruno K agamba nti mu nsi yonna abantu baliwo kwogerwako wabula Faridah mukwano gwe nnyo era y’emu ku nsonga lwaki yakirizza okuba mu vidiyo y’oluyimba ate mukyala alabika bulungi.
Ate Faridah asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era agambye nti Bruno K ‘Mutabani‘ wadde yakubye akayimba kagamba nti, “mpulira n’ebyenda biseeseetuse‘.
Faridah asabye abantu okuwagira Bruno K n’okulaba vidiyo y’oluyimba Faridah, “Just to distract you a little from the corona tension. Mutabani @bruno_kug yakubye akayimba….mpulira n’ebyenda biseeseetuse. Someone remind whoever started that rumour to update their followers. Full video on his YouTube channel. Ekirango kikomye awo, mugyebale”.
Vidiyo ya Bruno K
The post MUSWADDE! Faridah owa NTV awadde Bruno K erinnya okumwawula ku balala, ayogedde amazima ‘mpulira n’ebyenda biseeseetuse’ appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "MUSWADDE! Faridah owa NTV awadde Bruno K erinnya okumwawula ku balala, ayogedde amazima ‘mpulira n’ebyenda biseeseetuse’"
Post a Comment