Wuuno omuyimbi asuzza MC Kats nga teyeebase, atadde ekifuba ku mutima gw’ebbeere waaya ne yekyanga ‘nsumulula’
Kyaddaki munnamawulire wa NBS Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats alaze eggwanga omuyimbi amusuzza nga teyeebase kuba ali ku mutima gwe.
Mc Kats alina ekibiina ekiyambako okutumbula talenti za bannayuganda mu kisaawe ky’okuyimba ‘Kats Music’ era alina abayimbi ab’enjawulo omuli n’omuyimbi Shammy K gwe yabadde naye ku siteegi mu kivvulu ekimu.
Ku siteegi, Mc Kats yatadde ekifuba ku mutima gw’ebbeere ogwa Shammy K era ng’omusajja omulala yenna waaya yamutabuseeko wakati mu bawagizi okusakanya okwamanyi.
MC Kats okulaga nti okuyimba bizinensi era alina okukola ennyo okwongera okutumbula talenti ya Shammy K, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okugamba nti Shammy K mwenyumirizamu nnyo, “Proud of you @shammyk_ug_official“.
Wadde MC Kats ali ku mulimu gwa kutumbula talenti, waliwo abawagizi be abagamba nti Shammy K ali mu mukwano ne MC Kats era bagambye nti, “iamgerardtayebwa- U must be eating her, fredeafrica – Kati noyoo ogenda mwonono“.
The post Wuuno omuyimbi asuzza MC Kats nga teyeebase, atadde ekifuba ku mutima gw’ebbeere waaya ne yekyanga ‘nsumulula’ appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Wuuno omuyimbi asuzza MC Kats nga teyeebase, atadde ekifuba ku mutima gw’ebbeere waaya ne yekyanga ‘nsumulula’"
Post a Comment