AUDIO! Ndi mwetegefu okusibwa singa mugaana, Kenzo awadde Poliisi nsalesale nga musunguwavu
Bya Nalule Aminah
Omuyimbi Eddy Kenzo asabye Poliisi okuyimbula abantu bonna abaakwattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri bwe yabadde atuuse ku kisaawe Entebbe.
Kenzo yayaniriziddwa abantu bangi ddala omuli abayimbi, bannakatemba, bannabyabufuzi n’abantu babuligyo era oluguudo oluva ku kisaawe Entebbe okudda mu Kampala lwakwatiridde omugoteko gw’ebiduuka n’okusingira ddala aba bodaboda.
Kigambibwa Poliisi yakutte aba bodaboda abasukka 20 n’okutwala pikipiki zaabwe abavudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okwaniriza Kenzo ku kisaawe Entebbe.
Wabula Kenzo bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire mu bitundu bye Makindye yasabye Poliisi okuyimbula abavubuka bonna abaakwattiddwa kuba tebalina musango wabula okwagala omuntu waabwe (Kenzo) y’emu ku nsonga lwaki bazze Entebbe.
Kenzo agamba, “nze ndi mwetegefu okugenda ku Poliisi yonna awatwaliddwa abawagizi bange nange bansibe kuba tewali muntu abadde mu byabufuzi, wadde okulaga langi y’ekibiina era Poliisi ekoze nsobi okubakwata“.
Eddoboozi lya Kenzo
0 Response to "AUDIO! Ndi mwetegefu okusibwa singa mugaana, Kenzo awadde Poliisi nsalesale nga musunguwavu"
Post a Comment