ABYOGEDDE! Zari alaze lwaki wanjawulo nnyo ku bakyala abalala, asekeredde muggya we Tanasha ne mikwano gye
Kyaddaki Zari Hassan alaze lwaki ye mukyala wanjawulo nnyo ku bakyala abalala n’okusingira ddala mu East Africa.
Zari ali mu myaka 39, mukyala muzadde, alina abaana bataano (5) kyokka alaze nti asobodde okwekuumira ku mutindo kuba ategeera kye bayita okwekolako saaviisi.
Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutegeeza nti waliwo abantu abayinza okuwalana kuba oli wanjawulo nnyo nga balaba oli wanjawulo mu kitundu kyabwe kyokka nga bakwegomba obulamu bwo.
Ku Instagram, Zari agambye nti, “Some people may hate you for being different and not living by society standards, but deep down they wish they had the courage to do the same“.
Ebigambo bye, biraga nti alina omuntu gw’abadde akoona era kigambibwa abadde muggya we, Tanasha Donna Oketch, mukyala wa Diamond Platnumz ne mikwano gye.
The post ABYOGEDDE! Zari alaze lwaki wanjawulo nnyo ku bakyala abalala, asekeredde muggya we Tanasha ne mikwano gye appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "ABYOGEDDE! Zari alaze lwaki wanjawulo nnyo ku bakyala abalala, asekeredde muggya we Tanasha ne mikwano gye"
Post a Comment