Faridah Nakazibwe owa NTV akiguddeko, omusajja amutabukidde mu lwatu ku nsonga z’okuzaala omwana omulenzi, kikole obalansinge eryato
Munnamawulire wa NTV Faridah Nakazibwe akiguddeko, omusajja amutabukidde ayagala mwana mulenzi ate mu bwangu.
Nakazibwe amanyikiddwa mu Uganda ng’omu ku basomi b’amawulire ag’oluganda era y’omu ku bakyala abeegombebwa abalala.
Mu ngeri y’okulaga nti mukyala muzadde, asobodde okuteeka ekifaananyi ng’ali ne famire ye ku Instagram kyokka amangu ddala omusajja Agaba Ambrose amusabye okuzaalayo ku mwana omulenzi, okusobola okubalansinga famire mu ngeri y’okubalansinga eryato.
Mu bigambo bya Agaba, agambye nti, “We need a boy to balance the boat“.
Nakazibwe ku myaka 35, alina abaana babiri (2) bonna bawala nga muwala we omukulu Aaliyah Ankunda Ashurah yatudde eky’omusanvu (P.7) omwaka oguwedde ogwa 2019 era yayitidde mu ddaala lisooka n’obubonero 5.
Mu kiseera kino tekimanyiddwa oba Nakazibwe ali mu kulowooza ku nsonga ya Agaba, okuzaala omwana omulenzi.
Nakazibwe mukyala mufumbo, alina omusajja Umalu Sigala Ssali amanyikiddwa nga Dr. Omar Ssali kyokka tamulinaamu mwana yenna.
The post Faridah Nakazibwe owa NTV akiguddeko, omusajja amutabukidde mu lwatu ku nsonga z’okuzaala omwana omulenzi, kikole obalansinge eryato appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Faridah Nakazibwe owa NTV akiguddeko, omusajja amutabukidde mu lwatu ku nsonga z’okuzaala omwana omulenzi, kikole obalansinge eryato"
Post a Comment