Rema akoze ebyafaayo, aleese omugenyi ow’enjawulo mu konsati ye olunnaku olwaleero, ye mukyala asoose okumuleeta

Rema akoze ebyafaayo, aleese omugenyi ow’enjawulo mu konsati ye olunnaku olwaleero, ye mukyala asoose okumuleeta

Omuyimbi Rema Namakula aleese omu ku bakyala abagundivu mu ggwanga okuba omugenyi omukulu mu Konsati ye olunnaku olwaleero.

Rema alina Konsati ku Hotel Africana olunnaku olwaleero nga 14, Febwali, 2020 etuumiddwa ‘Rema Live in Concert’ era okuyingira buli muntu shs 100,000/- ate emmeza shs 3,000,000/-.

Bw’abadde awayamu naffe agambye nti olunnaku olwaleero, sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga myaka 63 ye mugenyi we omukulu olunnaku olwaleero.

Rema agamba nti Kadaga mukyala wanjawulo nnyo era amwegomba nnyo kuba mu Palamenti akulembera abantu ab’enjawulo, mukyala aweebwa ekitiibwa ate muntu w’abantu.

Agamba nti olunnaku olwaleero, ategese ebintu eby’enjawulo okuwa abawagizi be essanyu mu kivvulu kye ekisoose oluvanyuma lw’okwanjula bba mu bazadde Dr. Hamzah Ssebunya nga 14, November, 2019.

The post Rema akoze ebyafaayo, aleese omugenyi ow’enjawulo mu konsati ye olunnaku olwaleero, ye mukyala asoose okumuleeta appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Rema akoze ebyafaayo, aleese omugenyi ow’enjawulo mu konsati ye olunnaku olwaleero, ye mukyala asoose okumuleeta"

Post a Comment