ESSANNYU! Abaakwatibwa ku by’okutta Andrew Felix Kaweesi bagiddwako omusango gw’obuyeekera, Gav’t eremeddwa okufuna obujjulizi

ESSANNYU! Abaakwatibwa ku by’okutta Andrew Felix Kaweesi bagiddwako omusango gw’obuyeekera, Gav’t eremeddwa okufuna obujjulizi

Omulamuzi wa kkooti e Nakawa Ponsiano Odwori agobye omusango gw’obuyeekera ogubadde guvunaanibwa abasajja 14 abali mu kkooti ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi.

Omulamuzi agambye nti oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta obujjulizi mu kkooti emyaka egisukka ebiri (2), ekiraga nti tebalina bujjulizi.

Abasajja bano okuli Hassan Tumusiime, Abubaker Ntende, Saudah Ayub, Osman Mohammed, Ali  Mugoya, Abdul Majid Ojegere, Asuman Mugoya, Hamidu Magambo, Swalley Damulira, Ahmada Shaban Senfuka, Umar  Maganda, Sinaani Hibwagi, Abdurah Kalla ne Ibrahim Kissa era mu kiseera kino bali mu kkomera.

Munnamateeka waabwe Geofrey Turyamusiima yateekayo okusaba kwe ng’asaba kkooti egobe omusango ogwo era bw’atyo omulamuzi yawadde ensala ye, omusango gw’obuyeekera ne gugobwa.

Turyamusiima yategeeza omulamuzi nti oludda oluwaabi okulemwa okuleeta obujjulizi mu kkooti, kabonero akalaga nti kigendereddwamu okutyoboola eddembe lyabantu be.

Omusango guddamu nga 24, March, 2020. Kaweesi yattibwa March 17 ng’ava ewuwe e Kulambiro.

Ekifaananyi kya Bukedde

The post ESSANNYU! Abaakwatibwa ku by’okutta Andrew Felix Kaweesi bagiddwako omusango gw’obuyeekera, Gav’t eremeddwa okufuna obujjulizi appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "ESSANNYU! Abaakwatibwa ku by’okutta Andrew Felix Kaweesi bagiddwako omusango gw’obuyeekera, Gav’t eremeddwa okufuna obujjulizi"

Post a Comment