Abantu 4 basindikiddwa e Luzira ku by’okutta munnansi wa China Fan, baguddwako emisango 4

Abantu 4 basindikiddwa e Luzira ku by’okutta munnansi wa China Fan, baguddwako emisango 4

Abantu 4 basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okutta munnansi wa China Fan Xiping, eyali omutuuze ku kyalo Mbuya II mu Divizoni y’e Nakawa, nga 20, December, 2019.

Banno okuli Josha Nsereko, Edward Andama, Dan Ngobi ne Shamim Nampeera, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Posiono Odwori, owa kkooti y’e Nakawa era baguddwako emisango omuli ogw’obutemu ssaako n’okubisa eryanyi.

Bonna, tebakiriziddwa kwewozaako wadde okubaako ne kyeboogera kuba bali ku misango gyanaggomola, egiteekeddwa okuwulirwa mu kkooti enkulu yokka.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, ku lunnaku olwo nga 20, December, 2019 ku ssaawa 8 ez’ekiro, abavunaanibwa oluvanyuma lw’okutta Fan ng’asibiddwa akandoya, batwala ssente ze, shs 1500,000/=.

Omulamuzi Odwori abalagidde okudda mu kkooti okuva ku Limanda mu kkomera e Luzira nga 17, January, 2020.

The post Abantu 4 basindikiddwa e Luzira ku by’okutta munnansi wa China Fan, baguddwako emisango 4 appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Abantu 4 basindikiddwa e Luzira ku by’okutta munnansi wa China Fan, baguddwako emisango 4"

Post a Comment