Omusajja eyatta abantu 4 asindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Nakasongola ku misango gy’obutemu

Omusajja eyatta abantu 4 asindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Nakasongola ku misango gy’obutemu

Omusajja eyakwattibwa ku by’okutta abantu 4 e Nakasongola, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ku misango gy’obutemu.

Joshua Jjumba amanyikiddwa nga Sulaiman Kirabo Fred, nga mutuuze mu katawuni k’e Wabigalo mu ggombolola y’e Wabinyonyi alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Nakasongola Agatonica Mbabazi Ahimbisibwe ku misango 4 egy’obutemu.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Rachael Nabwire, nga 5, December, 2019, Jjumba yakwata ekiso era yatematema abantu 4, bonna naabatta.

Abattibwa kuliko Lozio Matovu, Judith Odur, Amos Sekanza ne Mesach Mawanda nga bonna baali batuuze mu katawuni k’e Wabigalo mu disitulikiti y’e Nakasongola.

Mu kkooti, oludda oluwaabi lusabye omulamuzi okubongera akadde nga bakyanoonyereza era Jjumba asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Nakasongola okutuusa nga 21, January, 2020.

Jjumba akulungudde mu kaddukulu ka Poliisi e Nakasongola e bbanga erigenda mwezi bukya akwattibwa Poliisi ku misango gy’okutta abantu 4.

The post Omusajja eyatta abantu 4 asindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Nakasongola ku misango gy’obutemu appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Omusajja eyatta abantu 4 asindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Nakasongola ku misango gy’obutemu"

Post a Comment