Eddy Kenzo alemeddeko ku nsonga za Rema, awadde Hamzah obukwakulizo obupya ku vuvuzera ya mukyala we, nze sikuba biwompogoma

Eddy Kenzo alemeddeko ku nsonga za Rema, awadde Hamzah obukwakulizo obupya ku vuvuzera ya mukyala we, nze sikuba biwompogoma

Omuyimbi Eddy Kenzo alaze nti alina essuubi nti Rema Namakula alina okudda mu bulamu wadde mu kiseera kino ali mu bufumbo bwa Dr.Hamzah Ssebunya.

Rema yasuulawo Kenzo kuba yali afunye omusajja omulala Dr.Ssebunya ategeera ensonga z’omukwano ate yali mwetegefu okukyalira abazadde era nga 14, November, 2019, yamutwala mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Oluvanyuma lwa Dr. Ssebunya okutwala Rema, Kenzo yafulumya oluyimba ‘Bibaawo’, okutegeeza ensi nti wadde Rema yamusuddewo, bibaawo.

Mu luyimba ‘Bibaawo’, Kenzo agamba nti, “Ye maama, Nze atalina manyi galwana, Silwari, nze silina makosa, Kyemwayagaliza embazzi kibuyaga asudde, Kyemwayagala obweda yesawa mulimba, Mumukwate bulunji kyensaba bantu bange, Temunzilizanga biwompogoma, Ebikonagana nga ebye Nagalama“.

Mungeri y’emu agamba nti wadde Rema baamutwala, abantu abamutwala si balungi, “Mpuliliza baby dear abantu abo sibalunji eeh, Ba rumor monger basi baagala nyo ebiganyi balabe, Bakungobako nakiliza bakutwala, Oyo propaganda propaganda wakunkyaaya, Ka juice kalungi mutaka, baby bakakuyisa byadala, Wankyayira bwerere bwerere haaa“,

The post Eddy Kenzo alemeddeko ku nsonga za Rema, awadde Hamzah obukwakulizo obupya ku vuvuzera ya mukyala we, nze sikuba biwompogoma appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Eddy Kenzo alemeddeko ku nsonga za Rema, awadde Hamzah obukwakulizo obupya ku vuvuzera ya mukyala we, nze sikuba biwompogoma"

Post a Comment