Malaaya atadde kalifoomu mu sooda, ssemaka abadde yesuunga okugikuba akomye kugikwatako

Malaaya atadde kalifoomu mu sooda, ssemaka abadde yesuunga okugikuba akomye kugikwatako

Omusajja Juma Ssebanenya addukidde ku Poliisi e Katwe okumuyambako okunoonya omuwala eyamukubye kalifoomu, akawungeezi k’olunnaku olwokubiri sabiti ewedde nga 24, December, 2019.

Ssebanenya agamba nti yafunye omuwala okumpi n’ekirabo ky’emmere ekya H&M e Makindye ne bakaanya okwesanyusa mu ngeri y’okunyumya akaboozi kyokka oluvanyuma omuwala yamuteeredde kalifoomu mu sooda.

Ku Poliisi, Ssebanenya agamba nti omuwala yamulaze omukwano nga bakyali mu kunywa kyokka yagenze okudda engulu ng’ali mu kalwaliro akamu gye yatwaliddwa mikwano gye ngali mu mbeera mbi.

Omuwala agamba nti Angel Mbabazi era yamubyeko essimu ya bukadde obusukka 2, ssente enkalu ssaako n’ebintu ebirala.
Kigambibwa Mbabazi y’omu ku bakyala abasamba ogw’ensimbi mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo wabula Poliisi etandikiddewo okumunoonya.

Ekifaananyi kya Bukedde

The post Malaaya atadde kalifoomu mu sooda, ssemaka abadde yesuunga okugikuba akomye kugikwatako appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Malaaya atadde kalifoomu mu sooda, ssemaka abadde yesuunga okugikuba akomye kugikwatako"

Post a Comment