KITALO! Ssentebbe wa NRM e Ntoroko attiddwa mu bukambwe n’owa bodaboda, Poliisi ekutte 2

KITALO! Ssentebbe wa NRM e Ntoroko attiddwa mu bukambwe n’owa bodaboda, Poliisi ekutte 2

Poliisi ekutte abantu babiri (2) ku by’okutta omuntu mu disitulikiti y’e Ntoroko.

Olunnaku olw’eggulo, ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) mu disitulikiti y’e Ntoroko Vincent Mugume yattiddwa ku kyalo Kandito mu kkumiro ly’ebisolo erya Tooro Semliki Game Reserve.

Mugume yattiddwa n’owa bodaboda eyabadde amuvuga ategerekeseeko elya Wazaadi era emirambo gyasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi mu nsiko ku luguudo oluva e Karugutu okudda Kanara.

Wabula addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Ntoroko David Katunda, agambye nti bakutte abantu 2 abateeberezebwa okwenyigira mu ttemu era bonna batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Fort Portal.

Mungeri y’emu agambye nti okunoonyereza okusookerwako kulaga nti obutakaanya ku ttaka y’emu ku nsonga lwaki ssentebbe Mugume yattiddwa.

Mugume era yaabadde Kansala mu tawuni kanso y’e Kanara ng’abadde omu ku bakulembeZe abalwanyisa ekibba ttaka.

The post KITALO! Ssentebbe wa NRM e Ntoroko attiddwa mu bukambwe n’owa bodaboda, Poliisi ekutte 2 appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "KITALO! Ssentebbe wa NRM e Ntoroko attiddwa mu bukambwe n’owa bodaboda, Poliisi ekutte 2"

Post a Comment