AUDIO! Omusajja asse omwana lwa bwenzi bwa nnyina, amukubye payipu ku mutwe
Poliisi eri mu kunoonya omusajja ku misango gy’okutta omwana mwaka gumu ku kyalo Konko mu Monicipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Wakiso.
Omwana Amili Kasiga yattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga yakubiddwa Omusajja Geoffrey Mugoya payipu ku mutwe.
Maama w’omwana Irene Nakamya agamba nti Mugoya muganda wa bbaawe (mulamu we), era yamusaangiriza n’omusajja omulala Samuel Kawooya neyiba nga bateesa ku nsonga y’embizzi gye yabadde agenda okumuguza kyokka Mugoya yamutabukidde nga bw’amulangira okuyenda ku muganda we.
Wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, Mugoya yakutte Payipu nagikuba omwana ku mutwe era amangu ddala n’agamba nti omwana si muganda we, ng’abadde alina okumutta.
Omwana yafudde nga maama addukira Poliisi y’e Kitigoma okufuna obuyambi n’okunoonya omusajja akubye omwana we.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Hellen Butoto, Mugoya aliira ku nsiko mu kiseera kino kyokka neyiba Samuel Kawooya akwattiddwa ayambeko Poliisi mu kunoonyereza.
Eddoboozi lya Butoto
The post AUDIO! Omusajja asse omwana lwa bwenzi bwa nnyina, amukubye payipu ku mutwe appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "AUDIO! Omusajja asse omwana lwa bwenzi bwa nnyina, amukubye payipu ku mutwe"
Post a Comment