AUDIO! Raphael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti atidde akalulu ka 2021, takomawo

AUDIO! Raphael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti atidde akalulu ka 2021, takomawo

Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu eyaleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti mu 2017, Raphael Magyezi alangiridde nti 2021 tagenda kuddamu kwesimbawo.

Mu kiseera kino Magyezi ye mubaka wa Igara West era bw’abadde awayamu naffe agambye nti agenda kuwumula ebyobufuzi eby’okulondebwa mu 2021 kyokka ayinza okudda gye buggya.

Magyezi waviiriddeyo okulangirira, ng’omubaka we Kasambya Gafa Mbwatekamwa amaze okulangirira nti mu 2021 agenda kumwesimbako e Igara, okumulemesa okudda mu Palamenti.

Kigambibwa, Magyezi okuleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti mu 2017, abantu bamukoowa era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki atidde okuddamu okwesimbawo mu kulonda kwa 2021 kuba ayinza okusemba.

The post AUDIO! Raphael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti atidde akalulu ka 2021, takomawo appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "AUDIO! Raphael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti atidde akalulu ka 2021, takomawo"

Post a Comment