AUDIO! Wuuno omuvubuka akwattiddwa ku by’okusobya n’okutta omwana myaka 4, Poliisi erangiridde ekiddako
Poliisi mu Monicipaali y’e Ntebbe ekutte omusajja ku misango gy’okusobya n’okutta omwana omuwala myaka 4.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omukwate ye Vincent Mugema nga mutuuze we Lunyo East mu Monicipaali y’e Ntebbe mu disitulikiti y’e Wakiso.
Taata w’omugenzi Ibrahim Sserwadda Katerega, agamba nti muwala we yabuziddwawo akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa 11 ate omulambo gwazuuliddwa ku ssaawa nga 1 ey’ekiro, Mita 10 okuva awaka nga bamunyodde ensingo oluvanyuma lw’okumusobyako.
Amangu ddala, abatuuze baategezezza ku Poliisi era okunoonyereza Mugema yakwattiddwa nga yasaangiddwa yekukumye.
Owoyesigyire agamba nti Mugema ali ku Poliisi y’e Ntebbe nga Poliisi bwenoonyereza okuzuula ekituufu.
Eddoboozi lya Luke
The post AUDIO! Wuuno omuvubuka akwattiddwa ku by’okusobya n’okutta omwana myaka 4, Poliisi erangiridde ekiddako appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "AUDIO! Wuuno omuvubuka akwattiddwa ku by’okusobya n’okutta omwana myaka 4, Poliisi erangiridde ekiddako"
Post a Comment