TEMUGEZA! Juliana Kanyomozi avuddeyo ku lw’abayimbi mu ggwanga, alabudde Gavumenti okukyesonyiwa

TEMUGEZA! Juliana Kanyomozi avuddeyo ku lw’abayimbi mu ggwanga, alabudde Gavumenti okukyesonyiwa

Omuyimbi Juliana Kanyomozi naye avuddeyo ku mateeka g’abayimbi, Gavumenti geyaleese okulambika ekisaawe ky’okuyimba.

Mu mateeka mulimu obuwayiro omuli 7(2) (c) ne 7 (2) (d) obugamba nti bannabitone omuli n’abayimbi nga tebannaba kufulumya luyimba oba omuzannyo gwe bayiiyiizza bajja kusookanga kugutwala mu kakiiko ka UCC okuyita mw’ebyo ebiyiiyiziddwa okulaba oba tebimenya mateeka.

Akawaayiro (d) kalagira bannabitone okusooka okufuna olukusa (ppamiti) mu kitongole ekivunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo ekya UCC okugeza ng’ogenda okukola ekivvulu era olina n’okulaga ennyimba z’ogenda okuyimba.

Mu kiseera kino bangi ku bayimbi bavuddeyo nga bagamba nti amateeka amapya gabatadde ku bunkenke era kirabika kigendereddwamu okubalemesa okutumbula talenti zaabwe.

Kati no ne Juliana avuddeyo era agambye nti abayimbi okuyimba awatali kukugirwa, kabonero akalaga addembe lyabwe.

Ebigambo bya Julian ku mukutu ogwa Instagram, kabonero akalaga nti naye ng’omuyimbi takiriziganya na Gavumenti ku mateeka amapya.
Omwogezi w’ekitongole kya UCC, Ibrahim Bbosa bwe yabadde ayogerako naffe ku mateeka amapya yagambye nti, “si mabi ng’abayimbi ne bannakatemba abamu bwe bakyogera wabula obuzibu buli ku kuba nti abasinga tebannaba kugategeera”.

Mungeri y’emu yasabye buli alina kye yeemulugunya okutuukirira ab’ekitongole kya UCC basalire wamu amagezi.

The post TEMUGEZA! Juliana Kanyomozi avuddeyo ku lw’abayimbi mu ggwanga, alabudde Gavumenti okukyesonyiwa appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "TEMUGEZA! Juliana Kanyomozi avuddeyo ku lw’abayimbi mu ggwanga, alabudde Gavumenti okukyesonyiwa"

Post a Comment