BAMBI! Zari asabye abantu okweddako mu kiseera kino, alaze lwaki wanjawulo nnyo ku basereebu abalala
Omukyala Zari Hassan asabye abantu okweyambisa akaseera kano okusiima abantu ab’enjawulo abakoze ebintu eby’enjawulo mu kulwanyisa ekirwadde ki Covid-19.
Zari myaka 39 agamba nti abantu abagwanidde okusiimibwa kuliko abakulembeze bw’ensi ez’enjawulo, abasawo ssaako n’ebitongole ebikuuma ddembe.
Ng’ayita ku mukutu ogwa Instagram, Zari agambye nti abasawo bakoze nnyo okulwanyisa Corona Virus, abakulembeze bangi tebakyebaka ku tulo nga banoonye engeri y’okutaasa abantu baabwe ssaako n’ebitongole byokwerinda okwongera amaanyi mu kukuuma bannansi.
Zari era asabye abantu okweyambisa emikutu emigatta bantu okuli Twitter, facebook n’emirala okusiima abantu webatyo okusinga okudda mu katemba ku buli nsonga yonna.
Ebigambo bya Zari biraga nti olw’okuba sereebu, alina okuvaayo okuwabula n’okusingira ddala eri abantu abamukiririzaamu.
The post BAMBI! Zari asabye abantu okweddako mu kiseera kino, alaze lwaki wanjawulo nnyo ku basereebu abalala appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "BAMBI! Zari asabye abantu okweddako mu kiseera kino, alaze lwaki wanjawulo nnyo ku basereebu abalala"
Post a Comment