LABA SSENTE! Wuuno omukozi ku Radio ne TV Pasita Bugingo gw’abadde aganza mu offiisi y’ekkanisa, amuzimbidde amaka agatemya ng’omutu

LABA SSENTE! Wuuno omukozi ku Radio ne TV Pasita Bugingo gw’abadde aganza mu offiisi y’ekkanisa, amuzimbidde amaka agatemya ng’omutu

Waliwo ebipya ebitandise okuvaayo oluvanyuma lwa Pasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries, Makerere Kikoni okusaba Suzan Makula obufumbo sabiti ewedde ku Lwokutaano mu kisaawe e Namboole.

Pasita Bugingo, yasobodde okufuna omukisa mu kisenge ekimu mu kisaawe e Namboole, okusaba Makula obufumbo era kigambibwa mu kiseera ekyo, akasenge mwabaddemu banyina ba Bugingo.

Bugingo okukkakkana ku maviivi okusaba Makula obufumbo, kabonero akalaga nti ali mu laavu era tewali ngeri yonna Teddy Naluswa Bugingo wadde mukyala wa mpeta gyasobola kwekiika mu nteekateeka ze.

Pasita Bugingo musajja tawena era mu ngeri ennyangu oyinza okugamba ali mu bwenzi n’omukozi we Makula.

Makula alina pulogulamu ku Salt Radio ne Ttivi era y’emu ku nsonga lwaki Pasita Bugingo yayanguye okumenya omutima gwe.

Omu ku bakozi ku Salt Radio ataagadde kwatuukiriza mannya ge agambye nti, “Makula agudde mu bintu, omusajja amuzimbidde enju etemya ng’omuntu, abadde mukozi nga naye afuna musaala kyokka mu kiseera kino, agudde mu ssente za Pasita. Kankubulire Makula yasooka kwebuzabuza nga takiriza nti ali mu laavu ne Pasita kyokka ennaku ezimu yamuyitaanga mu offiisi kumpi essaawa 2 nga bali mu mboozi, awo wetwatandikira okumanya nti bambi wadde yali abikweka, yali mu laavun ne Pasita“.

Amatiribona Bugingo gy’azimbira omugole Makula, esangibwa Namayumba mu disitulikiti y’e Wakiso etudde ku bugazi bw’ettaka bwa yiika 10
Kigambibwa nti emu ku nsonga lwaki Bugingo apapa okulangirira n’okuwasa Susan kwe kuggyawo ebyogerwa nti ali mu bwenzi era omusimbi gwonna agusaasaanyirizza ku mukazi ow’ebbali ate ng’ali mu bufumbo obutongole ne Teddy Naluswa.

 

The post LABA SSENTE! Wuuno omukozi ku Radio ne TV Pasita Bugingo gw’abadde aganza mu offiisi y’ekkanisa, amuzimbidde amaka agatemya ng’omutu appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "LABA SSENTE! Wuuno omukozi ku Radio ne TV Pasita Bugingo gw’abadde aganza mu offiisi y’ekkanisa, amuzimbidde amaka agatemya ng’omutu"

Post a Comment