ESSANYU! Dr. Sebunya alaze Kenzo kye bayita okwagala omukyala, kiggwa leero, Rema ali mu keetalo kwaniriza bagenyi, laba ssente

ESSANYU! Dr. Sebunya alaze Kenzo kye bayita okwagala omukyala, kiggwa leero, Rema ali mu keetalo kwaniriza bagenyi, laba ssente

Dr Hamza Sebunya amaliridde okutwala Rema Namakula mu maka era entekateeka zonna ziri mu ggiya nene.

Okusinzira ku mawulire okuva mu nsonda ezesigika, olunnaku olwaleero, Dr. Sebunya agenda kukyala ewa Ssenga wa Rema mu butongole e Naggulu mu Kampala era afunye abagagga b’omu Kampala ab’enjawulo okumuwerekerako olwaleero.

Kigambibwa olunnaku olwaleero ku ssaawa 6 ez’omu tuntu, Sebunya ng’akulembeddwaamu kitaawe omuto omugagga Godfrey Kirumira ssentebbe w’abagagga mu Kampala baakusitula okuva ku wooteeri emu mu Kampala (erinnya lisirikiddwa) okugenda e Naggulu ewa Ssenga.

Abalala abagagga abageenda okuwerekerako Ssebunya kuliko omugagga omuto Hamis Kiggundu (Ham), Sarah Nkonge owa Sarah Modern Acarde, Dick Kizito owa Kizito Towers n’abalala omuli ab’engaanda za Sebunya, abasawo n’abantu abalala.

Mu kiseera kino Rema ali Naggulu okulaga Ssenga omusajja we Dr. Sebunya era mu kukyala kigambibwa ebintu bingi nnyo ebigenda okutwalibwa omuli ensawo za sukkali, omuceere, ennyama n’ebintu ebirala era Ssenga asuubira abantu 20 bokka olunnaku olwaleero.

Abantu bonna abageenda okuwerekerako Dr. Sebunya balina ssente era olunnaku olwaleero kigambibwa bagenda kulaga kye bayita ssente mu bintu eby’enjawulo omuli okutwala ebintu bingi ddala, okuvuga emmotoka ez’ebbeeyi, engoye n’ebintu ebirala.

Okusinzira ku ntekateeka, Rema agenda kwanjula Dr. Sebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwa Masaka.

The post ESSANYU! Dr. Sebunya alaze Kenzo kye bayita okwagala omukyala, kiggwa leero, Rema ali mu keetalo kwaniriza bagenyi, laba ssente appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "ESSANYU! Dr. Sebunya alaze Kenzo kye bayita okwagala omukyala, kiggwa leero, Rema ali mu keetalo kwaniriza bagenyi, laba ssente"

Post a Comment