Kenzo asindikidde Dr. Sebunya ‘sigino’, alaze lwaki talumwa wadde Rema yamusuddewo, akyusiza obulamu wadde waaya sinsanyufu
Omuyimbi Eddy Kenzo naye alaze nti wadde Rema Namakula yafunye omusajja omulala Dr. Hamza Ssebunya, agambibwa nti alina ssente, naye tanyigirwa mu ttooke.
Kigambibwa Dr.Ssebunya alina ku ssente ate alina abantu ab’enjawulo omuli aba famire n’emikwano nga ssente zibayitaba omuli Godfrey Kirumira ssentebbe w’abagagga mu Kampala, omugagga omuto Hamis Kiggundu (Ham), Sarah Nkonge owa Sarah Modern Acarde, Dick Kizito owa Kizito Towers n’abalala.
Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okulaga ensi nti alina ssente ate mu ‘ddoola’ mu ngeri y’okusindikira Rema obubaka nti ssente weeri.
Wabula wadde Kenzo ne Dr.Sebunya bonna balina ssente, kiraga nti Rema yali anoonya muntu asobola okumuwa obudde ate ategeera kye bayita omukwano kuba abadde alina ennyonta ya laavu ng’ali mu maka ga Kenzo.
Why do these boys have to record me all the time
Posted by Eddy Kenzo on Monday, October 7, 2019
The post Kenzo asindikidde Dr. Sebunya ‘sigino’, alaze lwaki talumwa wadde Rema yamusuddewo, akyusiza obulamu wadde waaya sinsanyufu appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Kenzo asindikidde Dr. Sebunya ‘sigino’, alaze lwaki talumwa wadde Rema yamusuddewo, akyusiza obulamu wadde waaya sinsanyufu"
Post a Comment