AUDIO! Omusomesa akwattiddwa ku misango gy’okulima enjaga, atabukidde Gavumenti ku ky’okuggala amassomero

AUDIO! Omusomesa akwattiddwa ku misango gy’okulima enjaga, atabukidde Gavumenti ku ky’okuggala amassomero

Poliisi esanyizaawo yiika z’enjaga 40 mu disitulikiti y’e Wakiso.

omusiri ogusooka gubadde ku kyalo Kyengezi e Masuuliita, omulala Nansomba ne Nampunge mu Tawuni Kanso y’e Kakiti.

Poliisi n’amaggye batuuse mu nimiro z’enjaga nga balina essuubi okugikuula wabula addumira Poliisi mu bitundu bye Kakiri Hussein Mugarura yagambye nti enjaga yabadde mpitirivu nnyo nga betaaga ennaku eziwera.

Mu kikwekweeto, Poliisi yakutte omusomesa Samuel Mugamba nga mutuuze we Sseguku mu Kampala era yasangiddwa ng’ali mu kusimba njaga.

Mugamba agamba nti oluvanyuma lwa Gavumenti okuggala amassomero ng’emu ku ngeri y’okwetangira Covid-19 mu Gwokusatu 2020, yasalawo okwenyigira mu kulima enjaga, okusobola okufuna ssente okwebezaawo.

Muhammad Kisekka, ssentebbe wa Tawuni Kanso y’e Kakiri agambye nti bangi ku basomesa basobeddwa era y’emu ku nsonga lwaki bangi batandiise okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okumenya amateeka okunoonya ensimbi olw’amassomero okuggalawo.

DPC Mugarura agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula abantu bonna ababadde benyigidde mu kulima enjaga.

Eddoboozi lya Mugamba

The post AUDIO! Omusomesa akwattiddwa ku misango gy’okulima enjaga, atabukidde Gavumenti ku ky’okuggala amassomero appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "AUDIO! Omusomesa akwattiddwa ku misango gy’okulima enjaga, atabukidde Gavumenti ku ky’okuggala amassomero"

Post a Comment