ANTI WAAYA! Omuyizi wa S6 gwe bagaanye okunyumya akaboozi ku myaka emito yesse, omuzimu gutabukidde abazadde
Poliisi y’e Mpigi eri mu kunoonyereza ensonga entuufu eyavuddeko omuyizi wa S6 okwetta.
Sumayiyah Nabukenya 18 abadde muyizi ku ssomero lya Light College Mpigi yesse olwa bazadde be okumunenya ku mulenzi gw’abadde ayagala mu kiseera kino ng’ali mu luwummula lwa Kolona.
Nabukenya olwamugambyeko n’okumutiisatiisa okumukuba nga bamugaanye omulenzi, yavudde mu mbeera ne yetta ng’akozesa akakaaya ke okumpi n’ennimiro w’abadde alima okumpi n’ewa kitaawe ku kyalo kye Bukandagana A mu ggombolola y’e Kalamba mu Butambala.
Abazadde bagamba nti Nabukenya abadde mwana mugezi nnyo ku ssomero ng’omu ku bayizi abasinga bannaabwe era kigambibwa ayinza okuba yabadde afunye olubuto olwo kwekusalawo okwetta.
Ekifaananyi kya Bukedde
The post ANTI WAAYA! Omuyizi wa S6 gwe bagaanye okunyumya akaboozi ku myaka emito yesse, omuzimu gutabukidde abazadde appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "ANTI WAAYA! Omuyizi wa S6 gwe bagaanye okunyumya akaboozi ku myaka emito yesse, omuzimu gutabukidde abazadde"
Post a Comment