AUDIO ENKAMBWE! Olutalo lwa Justine Nameere ne Faridah Nakazibwe luzzeemu, abotodde ebyama ku musajja omulala abatabula
Olutalo wakati wa Faridah Nakazibwe ne Justine Nameere lukyalanda, ekintu ekiweebuula ekitiibwa kyabwe.
Nakazibwe ne Nameere bombi bawala balungi era abeegombebwa, bakozi ba ku ttivvi era bombi bafumbo, Nakazibwe akola ku NTV ne Justine Nameere eyakolako ku tivvi y’emu n’adda ku Bukedde n’avaayo nadda ku Salt gye yava oluvanyuma.
Wabula Nameere alambuludde ezimu ku nsonga lwaki alina obutakaanya wakati we ne Nakazibwe mu kiseera kino.
Nameere agamba nti, “Faridah Nakazibwe yavaayo ku mukutu ogwe ogwa Face Book nabuulira ensi y’abantu nti nze mpereza bbaawe (Omar Ssali) ‘message’ ezimukwana, ezonoona erinnya lye nti nze mukyala Kigongo omukulu mukyala Olive nti yampa ssente mpitirivu muteekeko abantu abamugoberera nti baagala kumuyiira asidi”
Eddoboozi lya Nameere
The post AUDIO ENKAMBWE! Olutalo lwa Justine Nameere ne Faridah Nakazibwe luzzeemu, abotodde ebyama ku musajja omulala abatabula appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "AUDIO ENKAMBWE! Olutalo lwa Justine Nameere ne Faridah Nakazibwe luzzeemu, abotodde ebyama ku musajja omulala abatabula"
Post a Comment