NZE NKOLEKI! Kenzo yewunyisizza abantu ku by’okwagala eyali muganzi we Tracy, ng’omusajja omulala yenna tomunenya

NZE NKOLEKI! Kenzo yewunyisizza abantu ku by’okwagala eyali muganzi we Tracy, ng’omusajja omulala yenna tomunenya

Omuyimbi omu yekka alina BET mu Uganda avuddeyo ku bigambibwa nti yazeemu okwagala eyali muganzi we Tracy Nabatanzi, oluvanyuma lwa Rema Namakula okumusuulawo.

Rema yafuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya kyokka ye Kenzo mu kiseera kino talina mukyala era y’omu ku banoonya okuva mu 2019.

Wabula wabaddewo ebigambo ebyogerwa nti ali mu laavu ne Tracy kuba ng’omusajja omulala yenna waaya ebanja ate talina mukyala.

Wadde ebigambo byogerwa, Kenzo agamba nti Tracy bakolagana nga maama w’omwana we era balina okukuza omwana mu mbeera enungi.

Ebigambo bya Kenzo biraga nti singa omusajja yenna ayawukana n’omukyala, tewali nsonga yonna eyinza kubalemesa kukolagana okusobola okukuza abaana obulungi.

The post NZE NKOLEKI! Kenzo yewunyisizza abantu ku by’okwagala eyali muganzi we Tracy, ng’omusajja omulala yenna tomunenya appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "NZE NKOLEKI! Kenzo yewunyisizza abantu ku by’okwagala eyali muganzi we Tracy, ng’omusajja omulala yenna tomunenya"

Post a Comment