VIDIYO! Kyaddaki Kenzo afunye embooko y’omuwala okudda mu bigere bya Rema, alangiridde okugikuba embaga obutasukka 2020
Kyaddaki Omuyimbi Eddy Kenzo alangiridde okulaga ensi kabite we agwanidde okudda mu bigere bya Rema Namakula obutasukka 2020.
Kenzo agamba nti omwaka 2020, okufuna omukyala omulala kye kimu ku kirubirirwa kyokka lina okufuna omukyala omutuufu kuba talina kuddamu kwejjusa.
Bwe yabadde ayogerako ne munnamawulire wa Bukedde TV, Kenzo yagambye nti, “omwana gunno omupya tugutandiise nina believe gunno omwaka tegusobola kuggwako nga nange sifunye mubeezi, I am very sure era nja kufunayo, ndi excited nnyo gya ku introdusingira abantu omuntu wange”.
Ebigambo bye Kenzo n’essannyu, biraga nti yafunye dda omukyala omulala era mwetegefu okumulaga bannayuganda bonna.
Kenzo abadde ne Rema mu bufumbo emyaka egisukka mu 5 kyokka Rema yamusuddewo omwaka oguwedde ogwa 2019.
Rema yafunye omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya gwe yayanjudde mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka.
Mu Uganda, waliwo abawagizi ba Kenzo abagamba nti omukyala omutuufu okudda mu bigere bya Rema ye muyimbi Lydia Jazmine kuba naye mukyala mulungi, alina abawagizi, alabika bulungi, ayimba bulungi, alina empisa ate kirabika ategeera bulungi nnyo ensonga z’omu Kisenge.
Vidiyo
The post VIDIYO! Kyaddaki Kenzo afunye embooko y’omuwala okudda mu bigere bya Rema, alangiridde okugikuba embaga obutasukka 2020 appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "VIDIYO! Kyaddaki Kenzo afunye embooko y’omuwala okudda mu bigere bya Rema, alangiridde okugikuba embaga obutasukka 2020"
Post a Comment