Omukyala asse bba lwa kulemwa kumutuusa ku ntiiko mu kisaawe ky’omukwano, Poliisi emukutte
Poliisi y’e Bududa ekutte omukyala ku by’okutta bba, nga busaasaana enkya ya leero.
Omukyala myaka 47 yakwattiddwa ku by’okutta Sowed Jabi Wekoye ku kyalo Bubiino mu ggombolola y’e Bushiribo mu disitulikiti y’e Bududa olw’obutakaanya wakati waabwe.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Elgon, Robert Tukei, omukyala ali ku kitebe kya Poliisi e Bududa ku misango gy’obutemu.
Mungeri y’emu agambye nti, omukyala okwatibwa, yaddukidde eri ssentebbe w’ekyalo Micheal Watira, okutegeeza nti balumbiddwa abazigu.
Ssentebbe Watira agamba nti omukyala bamwekengedde, olw’okusanga omulambo gw’omusajja ku kitanda mu kitaba ky’omusaayi nga tewali kiraga nti abatemu baabayingiridde.
Amangu ddala Poliisi yayitiddwa, omukyala nakwatibwa ku misango gy’obutemu, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.
Wabula abamu ku batuuze bagamba nti omusajja abadde asukkiridde okulangira omukyala obwenzi, nga kivuddeko obutakaanya.
The post Omukyala asse bba lwa kulemwa kumutuusa ku ntiiko mu kisaawe ky’omukwano, Poliisi emukutte appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Omukyala asse bba lwa kulemwa kumutuusa ku ntiiko mu kisaawe ky’omukwano, Poliisi emukutte"
Post a Comment