
Pulezidenti Museveni azzeemu okulonda Polof. Ezra Suruma ku bwa Chansala bwe Makerere
Baca Juga
- AUDIO: John Blaq Wakes Up From Music Slumber As Star Singer Drops New Hair Lifting Banger ‘Don’t Be Like’
- TUBIKOOYE! Obuganda butabukidde Poliisi olwa ttiyaggaasi, Kattikiro Peter Mayiga alangiridde ekiddako mu bukambwe
- ESSANYU! Col. Kaka Bagyenda eyagobeddwa mu ISO agudde mu bintu, Pulezidenti Museveni amuwadde ogufo ogusava okulumya abayaaye
Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kagata Museveni azzeemu okulonda Prof. Ezra Suruma nga Chansala ku yunivasite y’e Makerere.
Prof Suruma yaliko Minisita avunanyizibwa ku by’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga era yaliko Chansala ku yunivasite y’emu 2016.
Okulondebwa mu kiseera kino, yageenda okulemberamu, emikolo gy’okuttikira abayizi mu Janwali wa 2020.
Amyuka Chansala ku yunivasite y’e Makerere, Prof. Barnabas Nawangwe ayozayozeza Prof Suruma okuddamu okulondebwa nga Chansala era asuubiza okukolagana obulungi mu kutambuza emirimu.
Mu kiseera kino, Prof Suruma muwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga z’eby’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga, atuula kakiiko akateekerateekera eggwanga aka National Planning Authority n’emirimu emirala.
Prof Suruma kati ye Chansala ow’okutaano ku yunivasite y’e Makerere ng’abalala y’e Prof. George Mondo Kagonyera, 2007- 2015, Omugenzi Apolo Robin Nsibambi 2003 – 2007, Yoweri Kaguta Museveni 1986- 2002, Idi Amin Dada 1971 – 1979 ssaako Apollo Milton Obote 1970 ku 1985.
The post Pulezidenti Museveni azzeemu okulonda Polof. Ezra Suruma ku bwa Chansala bwe Makerere appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Pulezidenti Museveni azzeemu okulonda Polof. Ezra Suruma ku bwa Chansala bwe Makerere"
Post a Comment