KITALO! Omusajja attiddwa mu bukambwe, atemeddwa ku mutwe ekitabudde abatuuze

KITALO! Omusajja attiddwa mu bukambwe, atemeddwa ku mutwe ekitabudde abatuuze

Poliisi etandiise okunoonyereza ku ngeri omusajja Emmanuel Isabirye myaka 25 abadde omutuuze ku kyalo Kayunga mu ggombolola y’e Mafubira mu disitulikiti y’e Jinja gye yattiddwamu.

Omulambo gwa Isabirye, gwasangiddwa mu lutobazi lwe Wakitaka.

Omulambo gusangiddwako ebiwundu ku bulago, mu nsawo y’empale musangiddwamu obuccupa bubiri (2) obwa Uganda Waragi ssaako n’engato za ‘Open’ mu ngalo ze.

Jovan Kabukye mukwano gw’omugenzi agambye nti Isabirye yandiba nga yattiddwa olw’obutakaanya mu mirimu.

Ku nsonga eyo, ssentebbe w’ekyalo Kayunga Izat Waiswa agamba nti ebbula ly’emirimu y’emu ku nsonga lwaki okutwalira amateeka mu ngalo kweyongedde mu kitundu kye.

Mungeri y’emu asabye ekitongole ekya Poliisi okwongera amaannyi mu kulwanyisa obubbi mu kitundu.

Ate Patrick Mugenyi, akulira Poliisi y’e Mafubira agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku ttemu lyo era asabye abatuuze abalina amawulire okuyamba ku Poliisi.

The post KITALO! Omusajja attiddwa mu bukambwe, atemeddwa ku mutwe ekitabudde abatuuze appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "KITALO! Omusajja attiddwa mu bukambwe, atemeddwa ku mutwe ekitabudde abatuuze"

Post a Comment