MC Kats agenda kwetta singa temumuyamba mu bwangu, Dr. Kiwalabye awadde abazadde eky’okukola okutaasa obulamu bw’omwana waabwe

MC Kats agenda kwetta singa temumuyamba mu bwangu, Dr. Kiwalabye awadde abazadde eky’okukola okutaasa obulamu bw’omwana waabwe

Dr. John Kiwalabye okuva KK Medical center agamba nti Edwin Katamba amanyikiddwa ennyo nga MC Kats okubulwa omuntu omutuufu ayinza  okumubudabuda y’emu ku nsonga lwaki yasinzidde mu bbaala okulangirira nti alina sirimu.

Dr. Kiwalabye agamba nti okulangirira kirungi nnyo naye kirina okukwatibwa obulungi nnyo kuba kiyinza okukosa alangiridde ne famire yonna.

Mungeri y’emu agambye nti MC Kats alabika alina situleesi mu kiseera kino nga yetaaga omuntu yenna okumubudabuda kuba embeera gy’alimu asobola okwetta.

Dr. Kiwalabye asabye bazadde ba MC Kats oba mikwano gye okumuyamba kuba kirabika alina ebizibu era y’emu ku nsonga lwaki yasinzidde mu bbaala okulangirira nti alina sirimu.

Agamba nti ekintu kye yakoze, kirungi naye kiyinza okukosa abaana be, mukyala we Fille n’abantu abalala.

The post MC Kats agenda kwetta singa temumuyamba mu bwangu, Dr. Kiwalabye awadde abazadde eky’okukola okutaasa obulamu bw’omwana waabwe appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "MC Kats agenda kwetta singa temumuyamba mu bwangu, Dr. Kiwalabye awadde abazadde eky’okukola okutaasa obulamu bw’omwana waabwe"

Post a Comment