Eddy Kenzo ayingidde mu nsonga za MC Kats, alangiridde ekiddako wakati we ne bannayuganda bonna, kampeyini agitandiise

Eddy Kenzo ayingidde mu nsonga za MC Kats, alangiridde ekiddako wakati we ne bannayuganda bonna, kampeyini agitandiise

Omuyimbi Eddy Kenzo ayingidde mu nsonga za Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats oluvanyuma lw’okulangirira nti alina sirimu era ali ku ddagala.

Oluvanyuma lwa MC Kats okulangirira, kigambibwa ali mu mbeera mbi, ensi agikooye era mbu ayagala kwetta.


Okuva sabiti ewedde, abantu ku mikutu gya ‘social media’ egy’enjawulo n’okusingira ddala Face Book, buli omu alina endowooza ye olwa MC Kats okulangirira era abamu bagamba nti “MC Kats sigwe asoose okulwala sirimu, abantu bangi nnyo abalina sirimu nga bali mu ssannyu ate nga banyirira kuba bajjumbidde okumira eddagala era MC Kats alina kutandiika ddagala okusinga okwekubagiza“.

Wabula ne Kenzo avuddeyo ku nsonga za MC Kats ng’omuyimbi era akowodde bannayuganda bonna okumwegattako okulwanyisa okuvuma, okuzalawa n’okumalamu amaannyi MC Kats ku mikutu gya ‘social media’, “Let’s join hands and end Cyberharassment“.

Ate ku bigenda mu maaso mu ggwanga ku nsonga za MC Kats, Kenzo agambye nti ye ali wamu ne Kats era alangiridde Kampeyini bantu bonna okwegatta ku lwa Kats mu kiseera kino, “#IstandwithMcKats“.

The post Eddy Kenzo ayingidde mu nsonga za MC Kats, alangiridde ekiddako wakati we ne bannayuganda bonna, kampeyini agitandiise appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Eddy Kenzo ayingidde mu nsonga za MC Kats, alangiridde ekiddako wakati we ne bannayuganda bonna, kampeyini agitandiise"

Post a Comment