BIZUUSE! Laba engeri Mc Kats gye yafuna sirimu, ayanukudde Fille wakati mu maziga kuba naye asobeddwa ensi emutamye

BIZUUSE! Laba engeri Mc Kats gye yafuna sirimu, ayanukudde Fille wakati mu maziga kuba naye asobeddwa ensi emutamye

Wakati nga Edwin Katamba amanyikiddwa ennyo nga MC Kats asobeddwa kuba yalangiridde eri eggwanga lyonna nti alina sirimu, nate abantu ab’enjawulo bavuddeyo okulaga lwaki Kats yalwala.

Okusinzira ku Kojja Ssimbwa mu Kampala, Mc Kats yafuuka sereebu ku myaka emito, ng’alina ku ssente nga kimwanguyira okufuna abakyala ab’enjawulo mu Kampala n’okusingira ddala ng’ali ku NTV.

Mungeri y’emu agambye nti “mu Uganda, abawala abato bangi nnyo abalwadde ate nga banyirira nnyo, kigambibwa Mc Kats musajja w’abakyala era kibadde kimwanguyira okufuna abawala, ekintu ekyangu okufuna obulwadde“.

Ate Dr. John Kiwalabye okuva KK Medical center agamba nti, “MC Kats abadde nnyo mu bakyala, ng’omusajja omulala yenna, kizibu nnyo okwesonyiwa abakyala naddala ng’olina omukisa okubafuna. Ate obulwadde kintu kizibu nnyo, omuntu yenna asobola okulwala nga yebase n’omukyala omu, ate omusajja omwenzi nga si mulwadde“.

Ate Ssenga Acid ku Face Book agamba nti Mc Kats yafuna sirimu ku Faridah zalwango Ndausi kyokka naye talina bwiino.

Olunnaku olw’eggulo, Fille yabuzizza Mc Kats kye bageenda okugamba abaana baabwe kuba kirabika bonna balwadde.

Mungeri y’emu olunnaku olw’eggulo, Mc Kats yalaze nti naye asobeddwa kuba waliwo vidiyo eyakwattiddwa nga MC Kats akutte akambe ayagala kwetta wakati mu maziga kuba kirabika asobeddwa.

The post BIZUUSE! Laba engeri Mc Kats gye yafuna sirimu, ayanukudde Fille wakati mu maziga kuba naye asobeddwa ensi emutamye appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "BIZUUSE! Laba engeri Mc Kats gye yafuna sirimu, ayanukudde Fille wakati mu maziga kuba naye asobeddwa ensi emutamye"

Post a Comment