NEDDA SSEBO! ‘Sigenda kukirizza, naawe olina okutulaga’, Bobi Wine alemeddeko ku kya Pulezidenti Museveni, Besigye ne Kabuleeta bavuddeyo okukirwanyisa

NEDDA SSEBO! ‘Sigenda kukirizza, naawe olina okutulaga’, Bobi Wine alemeddeko ku kya Pulezidenti Museveni, Besigye ne Kabuleeta bavuddeyo okukirwanyisa

Abeegwanyiza entebe y’obukulembezze bw’eggwanga mu kulonda kwa 2021 bajunguludde amateeka agakwata ku by’okulonda omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni geyataddeko omukono ku ntandikwa ya Sabiiti eno nga bagamba nti tegalina kyegagenda kuyamba ku ngeri eby’okulonda gye bidukanyizibwamu mu ggwanga.

Mu mateeka amaggya, buli omuntu yenna agenda okwesimbawo ku bwa Pulezidenti, alina okulaga wagenda okuggya ensimbi za Kampeyini mu kalulu nga kikoleddwa okulwanyisa abantu okufuna ssente okuva mu makkubo amakyamu.

Wabula munnakibiina kya FDC Rt. Col. Dr. Kizza Besigye n’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine bagamba nti eky’okukaka abavuganya ku bwa Pulezidenti okulaga webagenda okugya ensimbi z’okukozesa kiriko ebigendererwa ebikusike ebikirimu.

Bobi Wine ne Besigye bagamba nti bagala Pulezidenti Museveni asooke alage gy’abadde agya ensimbi zakozesa mu kalulu n’ensaasanya yaazo, ebbanga ly’amaze mu ntebe.

Mungeri y’emu bagambye nti singa Pulezidenti Museveni akirizza okulaga eggwanga amakkubo mw’agenda okuggya ssente za Kampeyini, buli muntu yenna ayagala obwa Pulezidenti mwetegefu kukikola.

Ebigambo bya Besigye ne Bobi Wine biwagiddwa Munnamawulire era Pasita Joseph Kabuleeta nga naye yavuddeyo okuvuganya ku bwa Pulezidenti.

Kabuleeta agamba nti kimanyiddwa Pulezidenti Museveni mulunzi wa Nte, alina okuvaayo okulaga eggwanga omuwendo gwe Nte zeyatuunze okufuna ssente za Kampeyini kuba kigenda kuyamba nnyo okulwanyisa eky’okweyambisa ensimbi z’eggwanga.

The post NEDDA SSEBO! ‘Sigenda kukirizza, naawe olina okutulaga’, Bobi Wine alemeddeko ku kya Pulezidenti Museveni, Besigye ne Kabuleeta bavuddeyo okukirwanyisa appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "NEDDA SSEBO! ‘Sigenda kukirizza, naawe olina okutulaga’, Bobi Wine alemeddeko ku kya Pulezidenti Museveni, Besigye ne Kabuleeta bavuddeyo okukirwanyisa"

Post a Comment