AUDIO! Kenzo abotodde ebyama lwaki yakubye oluyimba ‘Tulinda Mugole’, ayogedde amazima ku by’okufuna omukyala omulungi okudda mu bigere bya Rema
Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo ayogedde amazima lwaki yakubye oluyimba ‘Tulinda Mugole’ ng’asinzira mu ggwanga mu Abidjan, Cote d’Ivoire.
Ebigambo bibadde bitandise okwogerwa nti Kenzo yafunye omukyala omulala okudda mu bigere bye Rema Namakula era y’emu ku nsonga lwaki yakubye oluyimba okutegeeza abawagizi be nti kati alina omukyala.
Wabula Kenzo bw’abadde awayamu naffe agambye nti ebintu by’okunoonya omuntu sibyangu, okufuna omuntu gwewesiga kwekusalawo okufulumya oluyimba, okuwa abantu essanyu.
Kenzo agamba nti oluyimba yalukubidde buli muntu yenna nga tannawasa, okubategeeza nti Tulinda Mugole ne bannabyabufuzi abagenda okwesimbawo kuba kati mu kiseera kino bagole.
Eddoboozi lya Kenzo
The post AUDIO! Kenzo abotodde ebyama lwaki yakubye oluyimba ‘Tulinda Mugole’, ayogedde amazima ku by’okufuna omukyala omulungi okudda mu bigere bya Rema appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "AUDIO! Kenzo abotodde ebyama lwaki yakubye oluyimba ‘Tulinda Mugole’, ayogedde amazima ku by’okufuna omukyala omulungi okudda mu bigere bya Rema"
Post a Comment