HAKUNA MUCHEZO! Gavumenti egobye bodaboda mu kibuga wakati, KCCA erangiridde ekiddako mu bukambwe

HAKUNA MUCHEZO! Gavumenti egobye bodaboda mu kibuga wakati, KCCA erangiridde ekiddako mu bukambwe

Kabinenti, ekirizza siteegi 579 bodaboda kwezirina okusimba mu kutambuza emirimu, egizeemu enkya ya leero egy’okutambuza abantu.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yakkiriza bodaboda, okuddamu okutambuza abantu nga bonna balina okwambala Masiki, okufuna ekitabo okuwandiikamu ebikwata ku basaabaze ssaako n’okufuyira Pikipiki zaabwe ng’emu ku ngeri z’okutangira Covid-19 okusasaana.

Kati no Kabinenti, efulumiza siteegi okulambika eby’entambula mu Kampala nga mu kibuga wakati siteegi 32, e Kawempe 89, Makindye 136, Nakawa 146 ne Rubaga 179.

Okusinzira ku kitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA), buli bodaboda erina okubaako siteegi kwepakinga nga bateeka mu nkola engeri zonna ez’okwetangira Covid1-19.

Mungeri y’emu bodaboda ziwereddwa mu Kampala mu kibuga wakati nga zirina kukoma ku nkulungo y’e Wampewo, Mukwano Road, Clock Tower –Kafumbe Mukasa mu Kisenyi, Watoto Church, Wandegeya, ku nkulugo y’e Mulago, Kamwokya, Lugogo Bypas ne Jinja Road.

Omwogezi w’ekitongole ki KCCA, Daniel Muhumuza Nuwabine agamba nti, okulongoosa eby’entambula, Bannakampala okussa omukka omulungi n’okulwanyisa abantu abakyamu abeerimbika mulimu gwa bodaboda y’emu ku nsonga lwaki Kabinenti evuddeyo okulambika bodaboda mu Kampala.

The post HAKUNA MUCHEZO! Gavumenti egobye bodaboda mu kibuga wakati, KCCA erangiridde ekiddako mu bukambwe appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "HAKUNA MUCHEZO! Gavumenti egobye bodaboda mu kibuga wakati, KCCA erangiridde ekiddako mu bukambwe"

Post a Comment