AMAZIGA! Flying squad ekutte abavubuka 3 ku by’okubba emmotoka, 4 zizuuliddwa
Ekitongole kya Flying squad mu bitundu bya Albertine, kikutte abantu basatu (3) ku misango gy’okubba emmotoka.
Abakwattiddwa kuliko Allan Kihumuro (21) nga mutuuze ku kyalo Kiryatete mu kibuga kye Hoima, Moses Tugume (25) nga mutuuze ku kyalo Kamusunsi mu ggoombolola y’e Kizirafumbi mu disitulikiti y’e Kikuube ne Musa Mwanika (30) omutuuze we Kisiita mu disitulikiti y’e Kakumiro.
Mu kikwekweeto ekyakoleddwa sabiti ewedde ku Lwokuna, Lwokutaano ne ku Lwomukaaga mu bitundu bye Hoima, Kakumiro ne Kasanda, n’emmotoka 4 ezigambibwa okuba enzibe zazuuliddwa omuli UAT 502N Canter, UAF 197P Corona, UAM 911P Corona ne UAK 765J Premio ne pikipiki UEL 776P Bajaj.
Kigambibwa emmotoka zabibwa wakati wa March ne June, 2020 mu bitundu bye Hoima, Masindi and Kagadi ne Kakumiro.
Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine agamba nti abakwate baludde nga batigomya abatuuze mu bitundu bye Hoima, Masindi, Kibaale, Kakumiro, Kasanda ne Mityana.
Abakwattiddwa bakuumibwa ku kitebe kya Poliisi e Hoima ku misango gy’obubbi.
The post AMAZIGA! Flying squad ekutte abavubuka 3 ku by’okubba emmotoka, 4 zizuuliddwa appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "AMAZIGA! Flying squad ekutte abavubuka 3 ku by’okubba emmotoka, 4 zizuuliddwa"
Post a Comment