ABYOGEDDE! Jjajja w’abayimbi munna NRM Ragga Dee abotodde ekyama ku kya Bobi Wine okulya obwa Pulezidenti, alabudde bannayuganda
Jjajja w’abayimbi munna NRM Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Ragga Dee avuddeyo ku ky’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okuwangula obwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021 okubindabinda.
Bobi Wine agamba nti bannayuganda balina okuvaayo mu kulonda kwa 2021, okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu ntebe kuba ye ssaawa Uganda okufuna enkyukakyuka.
Wabula Ragga Dee agamba nti Bobi Wine okulya obwa Pulezidenti kisoboka bulungi ddala kuba tewali kitasoboka mu nsi wabula bannayuganda balina okwebuuza ebibuuzo eby’enjawulo.
The post ABYOGEDDE! Jjajja w’abayimbi munna NRM Ragga Dee abotodde ekyama ku kya Bobi Wine okulya obwa Pulezidenti, alabudde bannayuganda appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "ABYOGEDDE! Jjajja w’abayimbi munna NRM Ragga Dee abotodde ekyama ku kya Bobi Wine okulya obwa Pulezidenti, alabudde bannayuganda"
Post a Comment