Zari asimattuse okukwattibwa, adduse okwewonya ekkomera lwa ‘Coronavirus’

Zari asimattuse okukwattibwa, adduse okwewonya ekkomera lwa ‘Coronavirus’

Zari Hassan asimattuse okukwattibwa mu ggwanga erya South Africa bw’abadde agezaako okufuluma ennyumba okugenda okukola dduyiro.

Mu South Africa bannansi bali mu Kalantini ng’emu ku ngeri y’okulwanyisa ekirwadde kya Covid-19 oluvanyuma lw’abantu abasukka mu 1,000 okuzuulibwa nti balwadde, balina akawuka ka Coronavirus.

Zari bwe yabadde agenda okukola duyiro, Poliisi yabadde kumpi n’ennyumba ye era yadduse mangu okudda mu nnyumba obutakwatibwa.

Mu South Africa, Zari agamba nti embeera eraga nti baasibiddwa mu nnyumba kuba tewali muntu yenna akirizibwa kutambula, “Looooordt, i was just gona take a jog, Jokes aside, in SA its not even lock down its more like house arrest“.

The post Zari asimattuse okukwattibwa, adduse okwewonya ekkomera lwa ‘Coronavirus’ appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Zari asimattuse okukwattibwa, adduse okwewonya ekkomera lwa ‘Coronavirus’"

Post a Comment