LAAVU MU KOLONA! Spice Diana awadde Manejja Roger omukisa okumuzaalamu omwana singa atuukiriza omulimu gwe, abotodde ebyama
Kyaddaki omuyimbi Spice Daina avuddemu omwasi ku bigambibwa nti ali mu laavu ne manejja we Roger Lubega.
Mu kiseera kino Spice talina musajja amanyikiddwa era y’emu ku nsonga lwaki abantu bamusibako nti ali mu laavu ne Roger.
Wabula Spice alaze nti buli kimu kisoboka okuzaalira Roger omwana kuba naye mukyala era kisoboka okuba mu laavu n’omusajja gw’ayagala.
Spice Daina bwe yabadde akwasibwa ‘Award’ ng’omuyimbi omukyala eyasinga okuyimba obulungi mu 2019-2020 mu Zzina Awards, yagambye nti obuwanguzi bwe buvudde ku Manejja Roger eyasobola okumukkiririzaamu.
Bwe yabuuziddwa lwaki tafumbirwa Manejja Roger kuba musajja mulungi ate naye amwesiga, Spice yagambye nti, “hahahaha kyokka banange, mu kiseera kino ndi ku bya kuyimba, eby’okufumbira Rogers, may be in future“.
The post LAAVU MU KOLONA! Spice Diana awadde Manejja Roger omukisa okumuzaalamu omwana singa atuukiriza omulimu gwe, abotodde ebyama appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "LAAVU MU KOLONA! Spice Diana awadde Manejja Roger omukisa okumuzaalamu omwana singa atuukiriza omulimu gwe, abotodde ebyama"
Post a Comment