ABYOGEDDE! Kyaddaki Kenzo alaze lwaki yejjusa okusembeza Rema mu bulamu bwe, mu myaka 4 obulamu bwabwe tebubadde bwangu

ABYOGEDDE! Kyaddaki Kenzo alaze lwaki yejjusa okusembeza Rema mu bulamu bwe, mu myaka 4 obulamu bwabwe tebubadde bwangu

Omuyimbi Eddy Kenzo laze nti akyali mu maziga oluvanyuma lwa Rema Namakula okufuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya.

Nga 14, November, 2019, Rema yayanjula Dr. Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka oluvanyuma lw’okuzuulawo Kenzo gwe yali yakazaalira omwana omu yekka.

Wabula Kenzo bw’abadde awayamu naffe ku lukomo lw’essimu ng’asinzira mu ggwanga erya Ivory Coast agambye nti mulwadde era alinze Gavumenti okumuyamba okudda mu Uganda oluvanyuma lw’omuggalo gwa Kolona okumusanga mu ggwanga eryo.

Kenzo era agambye nti obulamu bwe tebubadde bwangu mu myaka 4 okuva 2017 nga kivudde ku nsonga ya famire ye ne Rema Namakula.

Agamba nti okuva 2017, ebigambo bibadde bingi nnyo era bukya azaalibwa, emyaka 4 tayinza kugyerabira kuba agimaliddeko mu maziga n’ebirowoozo.

Kenzo wakati mu kulaga nti yejjusa okusembeza Rema mu bulamu bwe, agamba nti ebigambo by’abantu ku famire n’okugenda kwa Rema, yafunako n’ekirowoozo okwetta ng’akooye okuvumwa.

The post ABYOGEDDE! Kyaddaki Kenzo alaze lwaki yejjusa okusembeza Rema mu bulamu bwe, mu myaka 4 obulamu bwabwe tebubadde bwangu appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "ABYOGEDDE! Kyaddaki Kenzo alaze lwaki yejjusa okusembeza Rema mu bulamu bwe, mu myaka 4 obulamu bwabwe tebubadde bwangu"

Post a Comment