KIWEDDE! Minisita Kataaha Museveni afulumizza enteekateeka y’okufundikira olusoma olusooka, alabudde amasomero ku nsonga ya ssente

KIWEDDE! Minisita Kataaha Museveni afulumizza enteekateeka y’okufundikira olusoma olusooka, alabudde amasomero ku nsonga ya ssente

Minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni afulumizza enteekateeka y’olusoma olusooka oluvanyuma lw’ekirwadde kya COVID-19 ekisaasanyizibwa akawuka ka Corona Virus okulumba eggwanga.

Minisita Kataaha agamba nti singa byonna bitambula bulungi amasomero gakuddamu okuggulawo nga 27/04/2020 ate gaggalewo nga 12/06/2020.

Mungeri y’emu agambye nti okutangira ekirwadde kya Covid-19, Minisitule y’ebyobulamu yalemesezza okung’anira awamu era singa Kalantini ne Kafyu byongezebwayo, n’olusoma lw’abayizi esooka, eyinza okuddamu okwongezebwaayo.

Kataha era asiimye Obwakabaka bwa Buganda olwenteekateeka y’okusomesa abayizi nga bayita ku Terefayina mukadde kano akazibu era agamba nti Gavumenti erina entekateeka okusomesa abantu bonna mu ggwanga nga beyambisa Leediyo ne Ttivvi.

Minisita bwe yabadde ayogerako eri eggwanga akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga yagambye nti abayizi balina okuddayo ku massomero mu ttaamu ey’okubiri nga 22, June, 2020 okutuusa nga 4, September ate ttaamu ey’okusatu okuva nga 21, September okutuusa nga 19, December, 2020 ate amattendekero aga waggulu nga 2, May, 2020.

Mungeri y’emu Minisita Kataha era azzeemu okulabula amasomero okwesonyiwa eky’okulinyisa ssente nga bekwasa obusongasonga kuba mu kiseera kino n’abazadde tebalina ssente.

 

 

The post KIWEDDE! Minisita Kataaha Museveni afulumizza enteekateeka y’okufundikira olusoma olusooka, alabudde amasomero ku nsonga ya ssente appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "KIWEDDE! Minisita Kataaha Museveni afulumizza enteekateeka y’okufundikira olusoma olusooka, alabudde amasomero ku nsonga ya ssente"

Post a Comment