Bibiino by’olina okwewala mu kisenge okunyumirwa akaboozi n’okusamba 90 e Namboole
Mu Uganda, abantu bakola ebintu eby’enjawulo ebibalemesa okunyumirwa akaboozi mu kisenge, ekiyinza okuvaako n’obufumbo okwagala okusanawo oba omukwano okugwawo mu maka.
Naye Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano awadde ebimu ku bintu by’olina okwewala okukola mu kisenge okusobola okunyumirwa akaboozi.
Ssenga Kawomera agamba nti omusajja oba omukyala alina okwewala okunyumya emboozi etiisa ku kitanda kuba kyabulabe okuleeta emboozi z’abantu abaafa edda oba okomyawo ebikyamu omukyala oba omusajja bye yali akola kuba kiyinza okutta muudu y’okwegatta.
Omusajja oba omukyala okweyambisa akaseera nga munoonya muudu y’okwegatta, omu ku mwe, okulowooza ku kabuyonjo nti ayagala kweyamba. Kirungi omuntu yenna okugenda mu kabuyonjo naye singa oleeta emboozi bwetyo ku kitanda, muudu eyinza okufa.
Ssenga Kawomera era agamba nti omusajja oba omukyala alina okwewala okulowooza ku bizibu bye ng’ali ku kitanda. Agamba nti buli lw’oddira obwongo ate n’obujjuza kaccica w’ebirowoozo ebikunyiiza, obeera weekomeredde wekka kuba tasobola kunyumya kaboozi ng’oli mu birowoozo.
Ssenga Kawomera era agamba nti mu kiseera, omusajja yenna lina kukyeyambisa okuwaana mukazi we ebitundu by’omubiri omuli ebbeere, akabina, ebisambi, amaaso nebintu ebirala. Emboozi zino oluusi abakazi batera okuzaanukuza ebigambo ebigamba nti,”..nvaako naawe twala eri …tong’amba bya busiru…!” Naye ng’olwo basanyuse kubanga “…nvaako…” w’abakazi atera kutegeeza nti, ” yongeza omuliro.” Awo aba naye amasannyalaze gamukubye ng’alinda kuyingira kisaawe.
Mu nsi yonna, buli muntu alina ebizibu naye singa okutuuka mu kisenge, olina okubyesonyiwa kuba kigenda kuyamba nnyo asamba ekyenda.
The post Bibiino by’olina okwewala mu kisenge okunyumirwa akaboozi n’okusamba 90 e Namboole appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Bibiino by’olina okwewala mu kisenge okunyumirwa akaboozi n’okusamba 90 e Namboole"
Post a Comment