WUUNO BWIINO! Daddy Andre akola azina mu situdiyo, ekimufudde Polodyusa owamaanyi n’ebyana okumuyaayaanira

WUUNO BWIINO! Daddy Andre akola azina mu situdiyo, ekimufudde Polodyusa owamaanyi n’ebyana okumuyaayaanira

Mu Uganda, mu kisaawe ky’okulakulanya eby’okuyimba n’okuwa abaana abato omukisa okutumbula Talenti, Polodyusa Daddy Andre alinako ettofaali ddene.

Andre wadde Polodyusa, musajja muyimbi era alina ennyimba omuli Sikikukweeka, More and More, You and Me ate ayimba bulungi.

Abayimbi omuli John Blaq, Spice Daina, Lydia Jazmine, Karole Kasita n’abalala bakola bulungi mu kisaawe ky’okuyimba lwa Andre okubakolera ennyimba.

Tuwayizaamu n’abayimbi ab’enjawulo era bagamba nti Andre alina ‘okutu’, oluyimba aluwa obudde ate mutetenkanya nnyo, ekimufudde Polodyusa ow’enjawulo.

Mungeri y’emu abayimbi bagamba nti Andre mu situdiyo, azinira ku nnyimba zonna zaakoze nga tannaba kulufulumya okugenda ku Leediyo ne Ttivvi kuba alina okuwa abantu ekintu ekirungi.

The post WUUNO BWIINO! Daddy Andre akola azina mu situdiyo, ekimufudde Polodyusa owamaanyi n’ebyana okumuyaayaanira appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "WUUNO BWIINO! Daddy Andre akola azina mu situdiyo, ekimufudde Polodyusa owamaanyi n’ebyana okumuyaayaanira"

Post a Comment