Rema ayongedde okumenya omutima gwa Kenzo, akoze ekitali kyabuligyo ku Aamaal, Dr. Ssebunya alaze obusajja

Rema ayongedde okumenya omutima gwa Kenzo, akoze ekitali kyabuligyo ku Aamaal, Dr. Ssebunya alaze obusajja

Omuyimbi Rema Namakula alaze nti mwetegefu okulumya eyali bba Eddy Kenzo ku nsonga z’omwana waabwe Aamaal Musuuza Malaika.
Mu kiseera kino Kenzo ali mu kulumwa olwa Rema okumulemesa okulaba ku mwana we Aamaal okuva omwaka oguwedde ogwa 2019 lwe yafuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya era yamwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka nga 14, November, 2019.

Rema alaze nti Aamaal yabadde ajjaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 5 era alaga nti bamutegekedde akabaga akali ku mutindo gw’ensi yonna.

Ku mukutu ogwa Instagram, Rema era alemeseza Kenzo okulaba ku mwana we kuba ku mulundi guno, ataddeyo kifaananyi kya keeki nga kuwandikiddwa erinnya lya Aamaal kyokka omwana tamulaze era agambye nti, “Aamaal@5 class party

Rema alaga nti oluvanyuma lw’okufuna omusajja omulala Dr. Ssebunya, ebya Kenzo wadde yamuzaalamu omwana, tayagala kumanya kuba yakoowa nnyo era buli kyakola kiraga nti ddala Dr. Ssebunya musajja nnyo.

The post Rema ayongedde okumenya omutima gwa Kenzo, akoze ekitali kyabuligyo ku Aamaal, Dr. Ssebunya alaze obusajja appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Rema ayongedde okumenya omutima gwa Kenzo, akoze ekitali kyabuligyo ku Aamaal, Dr. Ssebunya alaze obusajja"

Post a Comment