LABA LAAVU! Ssemaka aswadde mu maaso ga mukyala we, bamusaanze apimpina ente nga waaya yonna ebunye obusa, awaddeyo ssente okugiwasa
Abatuuze ku kyalo Bulyampidi mu ggombolola y’e Imanyiro mu disitulikiti y’e Mayuge, basabye ssentebbe w’ekyalo Martin Ngobi, mutuuze munaabwe, eyakwattiddwa ng’asobya ku Nte, okumugoba ku kyalo.
Ssemaka myaka 40 ng’alina abaana basatu (3) yavudde mu nnyumba nga busasaana ku lunnaku olwa Ssande nga mukyala we yebase era yasaangiddwa mu kiraalo ky’ente, ng’ali bute, aliko ente, gyasibidde ku muti, ali mu kugisobyako ewa neyiba we Ronald Kikeire.
Neyiba agamba nti Ssemaka yabadde agezaako okudduka bwe yafulumye ng’Ente ekaaba nnyo kyokka yamulabudde okumutematema era amangu ddala yamugyeko engoye zonna naakuba enduulu eyasombodde abatuuze.
Mu lukiiko lw’ekyalo olwakubiriziddwa ssentebbe Ngobi, ssemaka yakkiriza okusangibwa ng’asobya ku nte era wakati mu batuuze okusakaanya, yasabye okusonyiyibwa.
Olukiiko, lwakiriziganyizza ssmaka okuwasa ente era yasabiddwa ssente miriyoni emu (1,000,000), okutwala mukyala we.
Ssemaka yasuubiza okuwa ssente nga 12, omwezi ogujja ogwokusatu era abatuuze bekozeemu omulimu, okunoga ebikoola okubikswasa ssemaka n’okubisiba ku nte ne bamutambuza okumutuusa mu makaage.
Wabula abatuuze bagamba nti wadde ssemaka yakkiriza okuwaayo ssente, kiswaza okuleka omukyala mu nnyumba nageenda ku nsolo kuba kye yakoze, kiwebuula ekitiibwa ky’abasajja.
Abatuuze n’okusingira ddala abasajja, basabye ssentebe, ssemaka agobwe ku kyalo kyabwe, kuba awaddemu ensa.
The post LABA LAAVU! Ssemaka aswadde mu maaso ga mukyala we, bamusaanze apimpina ente nga waaya yonna ebunye obusa, awaddeyo ssente okugiwasa appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "LABA LAAVU! Ssemaka aswadde mu maaso ga mukyala we, bamusaanze apimpina ente nga waaya yonna ebunye obusa, awaddeyo ssente okugiwasa"
Post a Comment