Laba engeri Diamond Platnumz gye yalidde ebintu bya Tanasha ekiro ku Valentayine, yenna yamwewadde okusanyusa olunnaku lwa waaya

Laba engeri Diamond Platnumz gye yalidde ebintu bya Tanasha ekiro ku Valentayine, yenna yamwewadde okusanyusa olunnaku lwa waaya

Tanasha Donna Oketch mukyala w’omuyimbi Diamond Platnumz alaze nti tewali mbeera yonna eyinza kubaawula ne bba kuba buli kimu kitambula bulungi wakati waabwe.
Sabiti ewedde ku lunnaku Olwokutaano nga 14, Febwali, lwaki lunnaku lwa Valentayine era bangi ku bakyala abali mu laavu, bafunye ebintu eby’enjawulo n’okusingira ddala ebimuli by’omukwano ne wayini okuva eri baganzi baabwe.

Ku Valentayine, Tanasha y’omu ku bakyala abafunye ku ssanyu okutuukira ddala mu kisenge kuba yabadde ne bba Platnumz ekiro kyonna wakati mu kweraga amapenzi n’okunywa ku wayini.
Tanasha yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwebaza bba Platnumz olw’okumuwa essanyu ekiro kiramba n’okwagaliza abantu abalala Valentayine era yagambye nti “Thank you mi amor for a special night & a Happy Valentines Day to you all. Let us always remember to love each other every other day, & not just today“.

The post Laba engeri Diamond Platnumz gye yalidde ebintu bya Tanasha ekiro ku Valentayine, yenna yamwewadde okusanyusa olunnaku lwa waaya appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Laba engeri Diamond Platnumz gye yalidde ebintu bya Tanasha ekiro ku Valentayine, yenna yamwewadde okusanyusa olunnaku lwa waaya"

Post a Comment