
ESSANYU! Ogwa Bajjo okunyiiza Pulezidenti Museveni gugobeddwa mu kkooti, Omulamuzi atabukidde Gavumenti
Baca Juga
- Pastor Julie Mutesasira Finally Weds Wife In Pompous Ceremony After ‘She Said Yes’
- AUDIO: John Blaq Wakes Up From Music Slumber As Star Singer Drops New Hair Lifting Banger ‘Don’t Be Like’
- TUBIKOOYE! Obuganda butabukidde Poliisi olwa ttiyaggaasi, Kattikiro Peter Mayiga alangiridde ekiddako mu bukambwe
Kyaddaki omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo.
Omulamuzi Amabirisi okugoba omusango kidiridde oludda oluwaabi okubulwa obujjulizi mumusango guno.
Mu kkooti, omulamuzi bw’abadde awa ensala ye agambye nti omusango guludde nga gwongezebwayo kyokka oludda oluwaabi ne lulemererwa okuleeta wadde omuntu omu okuwa obujjulizi, ekintu ekityoboola eddembe ly’obuntu.
Mungeri y’emu omulamuzi Amabirisi agambye nti bbanga omusango lyegumaze mu kkooti singa abajulizi bagulinamu obwagazi, bandibadde bajja dda mu kkooti.
Bajjo abadde awerenemba n’omusango gw’okunyiiza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bwe yasinziira mu katambi okutegeeza nti omwaka 2021 wegulituukira nga Museveni avudde mu ntebe.
Mu kkooti, Omuloodi Ssalongo Erias Lukwabo yabadde munnamateeka we.
The post ESSANYU! Ogwa Bajjo okunyiiza Pulezidenti Museveni gugobeddwa mu kkooti, Omulamuzi atabukidde Gavumenti appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "ESSANYU! Ogwa Bajjo okunyiiza Pulezidenti Museveni gugobeddwa mu kkooti, Omulamuzi atabukidde Gavumenti"
Post a Comment