BITABUSE! ‘Coronavirus’ atuuse mu nsi 25, mu Uganda abasukka mu 200 bagiddwa mu bantu, Minisita Aceng ayogedde
Kyaddaki Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga, Dr. Jane Ruth Aceng, abikudde ekyama, nti bantu 220 abaavudde mu ggwanga erya China, bateekeddwa mu kifo eky’enjawulo, okwekeneenyezebwa obulungi, okubatangira okuyingiza ssenyiga mu Uganda okuva mu ggwanga erya China amanyikiddwa nga coronavirus.
Ku bantu 220 kuliko bannayuganda ne bannansi ba China, abatuuse mu Uganda wakati wa Ssande n’akawungeezi k’olunnaku olweggulo ku Lwokubiri nga 11, February, 2020.
Minisita Aceng agamba nti waliwo abasawo abalina okulambula abantu mu maka gaabwe gye bakuumibwa wakati we sabiti 2 n’omwezi gumu okulaba oba tebalina bubonero bwa coronavirus.
Mungeri y’emu agumizza bannayuganda nti newankubadde abasukka abantu mu 200 bateekeddwa mu bifo eby’enjawulo, Uganda tenafuna muntu yenna alwadde coronavirus.
Agava mu China galaga nti abasukka mu 1000, bebakaffa olwe kirwadde ekya coronavirus ate abasukka mu 43,000 bebalina obulwadde.
coronavirus yatuuse dda mu nsi endala 25 omuli
Australia (at least 15 cases)
Belgium (at least 1 case)
Cambodia (at least 1 case)
Canada (at least 7 cases)
Finland (at least 1 case)
France (at least 11 cases)
Germany (at least 16 cases)
Hong Kong (at least 49 cases, 1 death)
India (at least 3 cases)
Italy (at least 3 cases)
Japan (at least 203 cases)
Macao (at least 10 cases)
Malaysia (at least 18 cases)
Nepal (at least 1 case)
Philippines (at least 3 cases, 1 death)
Russia (at least 2 cases)
Singapore (at least 47 cases)
South Korea (at least 28 cases)
Spain (at least 2 cases)
Sri Lanka (at least 1 case)
Sweden (at least 1 case)
Taiwan (at least 18 cases)
Thailand (at least 33 cases)
United Arab Emirates (at least 8 cases)
United Kingdom (at least 8 cases)
United States (at least 13 cases)
Vietnam (at least 15 cases)
The post BITABUSE! ‘Coronavirus’ atuuse mu nsi 25, mu Uganda abasukka mu 200 bagiddwa mu bantu, Minisita Aceng ayogedde appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "BITABUSE! ‘Coronavirus’ atuuse mu nsi 25, mu Uganda abasukka mu 200 bagiddwa mu bantu, Minisita Aceng ayogedde"
Post a Comment